Abakyala bannakyewa wansi w’ekibiina ekigatta bannamateeka abakyala ekya Uganda Association of Women Lawyers ekimanyiddwa ennyo nga FIDA-
Uganda ewaddeyo okusaba mu kkooti enkulu mu Kampala nga baagala ebiragiro biwaliriza gavumenti okussaawo etteeka erikuuma abantu naddala abakyala abali mu mukwano ogw’okubeera awamu. Etteeka mu Uganda likkiriza obufumbo obw’engeri ssatu zokka, obufumbo obw’eddiini, obw’obwannannyini, n’obw’ennono. Okubeera awamu abaagalana mwe basalawo okuva bombi oba okwegatta nga tebafumbiriganwa mu okusinziira ku mateeka ga Uganda. Kino bannakyewa bagamba nti kirese abantu mu mukwano ogw’okubeera awamu nga tebalina bukuumi naddala wa amateeka agakwata ku bwannannyini ku bintu by’obufumbo gakkiriza abantu bokka abafumbo mu butongole wansi w’engeri essatu wa bufumbo.
Elizabeth Kemigisha, avunaanyizibwa ku kubunyisa amawulire mu kitongole kya FIDA agamba nti obutabaawo tteeka nti elikuuma n'okunyweeza eddembe ly’abantu abali mu nkolagana ey’okubeera awamu, mu kiseera we babeezaawo obulamu bwabwe n' okusasika; era erina akakwate akatali ka kigero ku bakyala.
Agamba nti abakyala batera okutulugunyizibwa olw’obutakwatagana mu kikula ky’abantu obuliwo, nga eri abakyala bangi, okufuula eby’obugagga ebivaamu ebibala ng’ettaka, ebituukirirwa bokka nga bayita mu nkolagana yaabwe ey’abasajja.
Share
Related News
Tags
Archive
Disunity as a Plague Among Us Bamasaba
Popular and Recent News
Online Poll
Is the Parliamentary Boycott the best way forward?


Comment